Dear Hip Hop – GNL Zamba Lyrics | Spurzine
Music Lyrics

Dear Hip Hop – GNL Zamba Lyrics

Intro

Dear Hip Hop
Yali asibye ebiswahili nga layini ziri straight
Yali ava siiga graffiti ku ngalo kwaliko paint [Yes]
Lwe nasooka okulaba Hip Hop gwali mwaka gwa 78
Nali sirabanga muwala ng’ajjuzza figure eight [Hhm hhm]
Ebbina lye lyali ddene, eyo ye yali bait [Woo!]
N’asooka n’aŋamba ntino two times eight
Yali ayagala mukubiremu sixteen bars eziri tight
Naye mwana ebiseera ebyo nange nali nkyali fala [Falaa…]
Rhyme gye nasooka okukuba n’agiziimuula
Nali nkyayavula, Ibrah n’amutwala
Kwesto ye n’alyoka amufuula omukyala [Yes]
Namusanga akissinga Sylvester ne Abrahamz ku DV8 [Yes]
Babaluku, Navio n’Abataka baalinga ba bba be
Namwegomba azze okulaba Lyrical G ku No End [Yes]
Lumix eya muleetanga e Ntinda ku wiikendi [Ah!]

 

Verse I

Yala, Slyke, Milka baalinga ba girlfriend be [Yes]
Nze ne Mulekwa back in the day had no money to spend [Hhm]
Namuweereza ka soda nange akimanye nti gyendi [Yes]
Ani yali amanyi tulibeera together in the end? [What]
BFE yatandika okufuna platinum cheques [Yes]
N’andaga ba queen, ba P Tec ne ba president [Ah!]
Yaŋamba mbuulire story eza ba ghetto residents [Yes]
Lugaflow is my culture so I must represent [Represent]
Yaŋamba eggulu lyampa ekitone ky’okubeera intelligent
Nyinyonnyole abaana concepts babeere confident [Confident]
Globally yampa amaanyi g’okubeera eloquent [Yes]
Tour tuzikubye locally ne internationally [Ah!]
Financially y’eyannyimusa n’anzigya ku cement [Yes]
Spiritually am trying to be the best man I can be [Ah!]
Lyrically the pen is mightier than the sword I can see
And I promise to love you forever signed yours sincerely

 

Chorus

Dear Hip Hop nze nkumissinga
Mu bakazi be naakabeera nabo yegwe asinga
Ki ekikunyiga ki ekikaabya amaziga?
Nze nkooye okulaba nga bakumistreatinga [Yes]

Oli mulungi smile eringa poetry
Kankukwate mu kiwato ng’akwata ekitontome [Baby]
Tutambule ffembi abateesi ka tubalumye [Ah!]
Tuula wano eno ku kisambi nkunyumize story

 

Verse II

Memories mu mpewo nga Boomerang zikomawo [Yes]
Ng’omwagalwa wange ng’awunya akawoowo [Ah!]
Nga arrow ne bow twesikamu ne tweggyawo [Yes]
First date ne Hip Hop twalya luwombo lwa cow [Ah!]
Bwe nakola poem eyasooka yagamba wow! [Wow!]
Ne mulaga eggulu nga telescope ya Galileo
Luga flow ng’akyawooma nga sumbuusa eya kawo [Yes]
Kino ba kasangwawo kye baalanga nti kiribaawo [Hhm]
Bw’oba owakana gwe genda obuuze jajja wo
Naggyako akawuuwo ne mpandiika formula empya ku lubaawo
GNL Zamba lyrical architect w’ekimbeewo [Lyrical]
Surgeon eyayawula aba Hip Hop mu Kipepeo [Ah!]
Buli ssaawa obwongo bubeera budduka ng’akaweewo
Naye mwana GNL Zamba n’otulekawo? [Yes]
Mpulira kati oyimba ne Mangere mwakola duo? [Ah!]
N’owewuwo ddamu otukube show eziri annual [Yes]
Baboon Forest obasomere manual [Yes]
Hits ziri classic, style eri fantastic [Yes]
Zamba oyagala colour ya white olinga wa traffic [Ah!]
Kko nze omwana muzungu naye omutima gwa ba Nilotic [Yes]
We go together just like Gin and Tonic [Yes]
Jjuuzi namugambye engeri gye njagalamu Hip Hop [Ah]
Naye n’agamba muleete mu buliri tukole ménage à trois [What!]
Kuba ndaba engeri gy’omumissinga oyinza n’okwewa obutwa [Haha!]

 

Outro Chorus

Dear Hip Hop nze nkumissinga
Mu bakazi be naakabeera nabo yegwe asinga
Ki ekikunyiga ki ekikaabya amaziga?
Nze nkooye okulaba nga bakumistreatinga [Yes]

Oli mulungi smile eringa poetry
Kankukwate mu kiwato ng’akwata ekitontome [Baby]
Tutambule ffembi abateesi ka tubalumye [Ah!]
Tuula wano eno ku kisambi nkunyumize story

Dear Hip Hop nze nkumissinga
Mu bakazi be naakabeera nabo yegwe asinga
Ki ekikunyiga ki ekikaabya amaziga?
Nze nkooye okulaba nga bakumistreatinga [Yes]

Oli mulungi smile eringa poetry
Kankukwate mu kiwato ng’akwata ekitontome [Baby]
Tutambule ffembi abateesi ka tubalumye [Ah!]
Tuula wano eno ku kisambi nkunyumize story
Story, story….

 

Also read: Bintwala – Mun G Lyrics

 

Subscribe to our newsletter now and know about the latest hottest music, lyrics, and lugambo of the week!

Dear Hip Hop – GNL Zamba Lyrics 1

Author: Allan Bangirana

Allan Bangirana is a freelance writer for Newslibre & Spur Magazine. He is passionate about tech, games and occasionally writes about entertainment, lifestyle and so much more.

0Shares

Leave a Reply

Your email address will not be published.