Masanda - Maureen Nantume Lyrics | Spurzine
Lyrics

Masanda – Maureen Nantume Lyrics

Intro

Twakula tutyaba nku

Kuzanya kwiso na bando

Nga tulya ndiizi tulya vuuvu

Obuwoomi bwa kadoma bwe nina

Otutte munyuvu ssi kwewaana

Twakula tusiba minyige na mpombo

Tugende mboobeze nkuvumbikire

Ogenda kulya ne ku kawogo akookye

Iyii hmm, baby [Era]

Nze manyi omugaso gw’enkumbi baby

Nze mmanyi omugaso gw’akawuuwo

 

Chorus

Eyatuuzibwa omulabira ku ki? [Ku masanda]

Ekiraga omukazi anaafumba [Gaba mabavu]

Anaakuzimba omulabira ku ki? [Ku masanda]

Alina byonna ebyo ebifumba [Yenze wano]

Eyatuuzibwa omulabira ku ki? [Ku masanda]

Ekiraga omukazi anaafumba [Gaba mabavu]

Anaakuzimba omulabira ku ki? [Ku masanda]

Alina byonna ebyo ebifumba [Yenze wano]

 

Verse I

Ffe twakulira wa ssenga

Nga tukima mazzi bwe tugayiwa mu nsuwa

Embuzi zo twazisibangayo ku ttale

Eziwalira ne tuzisikanga

Wuliriza bye nkugamba bino abo tebamanyi kufumbya nku

Tebamanyi kuzuuka nswa

Tebamanyi na kiwoomya matungulu

Nakulabanga kunnemerako

Kumbe engalo wazikeberako

Nga n’enkyaakya zannemerako

Waguma ne tuzikuutako dear

 

Chorus

Eyatuuzibwa omulabira ku ki? [Ku masanda]

Ekiraga omukazi anaafumba [Gaba mabavu]

Anaakuzimba omulabira ku ki? [Ku masanda]

Alina byonna ebyo ebifumba [Yenze wano]

 

Verse II

Omulungi wange k’otuuse

Ebinnuma ne binzoganya byonna bidduse

Ababadde bangyeya, ahhh…

Nti nga ndudde ku luggya mujje mundabe

Mbadde nsoma laavu

Course yange ng’ebadde mpanvu

 

Also read: Quinamino – Azawi Lyrics

 

Subscribe to our newsletter now and know about the latest hottest music, lyrics, and lugambo of the week!

Masanda - Maureen Nantume Lyrics 1

Author: Allan Bangirana

Allan Bangirana is a freelance writer for Newslibre & Spur Magazine. He is passionate about tech, games and occasionally writes about entertainment, lifestyle and so much more.

1Shares

Leave a Reply

Your email address will not be published.