Intro:
Olese ndiizi mu lusuku awo obulukila eyo
Naye manya, ebinyonyi bigenda ku mubojogola
Verse I:
Nawe lwaki wekunya [Lwaki wekunya]
Onekwasa ani bw’ononsubwa
Songa gye mpita, ndeka abasajja batega ngalo [Huh]
Mbegyako nga ba ngobelera
Mbakambuwalira bansekelera
Mu makubo emisana n’ekiro nga bampaana
Silina gwe nali nsabye nnamba
Naye babula kuzimpandiikako
Sibuuza na gye basula naye ate bandagilira
Nze ndaba obongota zukuka
Bw’oba onjagala kindage
Ojira osumagila balikuyita ku litalaba [Hiyee]
Chorus:
Sili muyembe, nti oba olinda kwengela olimba [Mbaa]
Sili papali, nti owanula mengevu mboona [Mmm]
Nze binemye ebibyo [Aah], Ah ah nkulinze nkoye [Nkoye]
Tonkabila nga, nga bakukubye bbusu
Verse II:
Nze laavu yantabula eli essesa
Gw’oyagala ab’agayala [Mhhm]
Nga gwotamatila ye akukabila
Bw’oyoya ekibumba awo waali
Tekimugana ku kutila nte
Ne bwe wekaza n’omuvuma bambi
Ate y’eyenenya
Ekintu ky’olina okyakigaya
Oluliv’awo nga wejjusa
Ng’owooza samanya nali nina okwanguwa
Nze ndaba ovumbera tumbuka
Oleme kwekuba ate gakonde
Nti gunsinze, gunsingidde ddala [Yee]
Chorus:
Sili muyembe, nti oba olinda kwengela olimba [Mbaa]
Sili papali, nti owanula mengevu mboona [Mmm]
Nze binemye ebibyo [Aah], Ah ah nkulinze nkoye [Nkoye]
Tonkabila nga, nga bakukubye bbusu
Verse III:
Mbiwulira nga bakulumiliza
Simanya bino, manya bili
Babijweteka nti ela
Ndi mu kasala luguddo
Nze ebyo tebindya, manyi wolokoso
Teli magic asiika, guli mukwano
Gwe gwantuuka ewala
Tondeka mu mwaala gwa bikemo
Mujjuvu, gujja kunselengesa
Olyoke onnenye nze onsalire omusango
So nga bambi gwe musobya
Okugalabanja nze nz’enna
Gwe seka, oli byejjusa
Nga nfunye afaayo
Outro Chorus:
Sili muyembe, Sili muyembe
Nti oba olinda kwengela olimba [Ehh]
Sili papali, nti owanula mengevu mboona [Ah]
Nze binemye ebibyo [Aah], Ah ah nkulinze nkoye [Nkoye, nkoye]
Tonkabila nga [Nkoye], nga bakukubye bbusu [Nkoye, nkoye]
Sili muyembe, Nti oba olinda kwengela olimba
Sili papali, nti owanula mengevu mboona [sili papali]
Nze binemye ebibyo [Aah], Ah ah nkulinze nkoye [Aah Ah ah]
Tonkabila nga, nga bakukubye bbusu
Sili Muyembe
Leave a Reply