Who Is A She - Recho Rey Lyrics | Spurzine

Who Is A She – Recho Rey Lyrics

0 Shares

Intro:

Kakyala katono, okanyomera mitala wa mugga

Naye bwe ka kusembelera, kasobola okumegga

Nzize kugoba bubble gum ku lwaliriro

Heh, mugudde mu kamwa ka ggonya

Recho Rey, Invaders Music

This is how we do it [Drummer Boy]

 

Verse I:

Ba rapper ntandiise oba mamilira

Omutontomi y’atontoma ekitontome

Laba nno bano!

Lugaflow mu kutandika nga wakabi nnyo

Naye ba ffala badda mu ku mukuula binyo

Nzize nga ssenga e Ssingo

Nzize basomesa, mu nsinga myaka

Mbasinga work, this is not disrespect to you

Am the illest, baddest

Leader ku beat, katondest

Haha, Invader

 

Verse II:

Gwe lu Fake Bbuti by’okola butwa, mbu you did it

Oli ka magumba, nyama zalwo, no meat

Tosobola kugejja, okugyako

Ng’otandise okulya big pig, you dig?

Mwe ababitandise nange I’ve did it

Ozanyidde mu business, nonsense

Eno process, Ŋgenda bakuba mu excess

Ate mwe abatyanga ebizamu muli workless

[Afudde] [Bubadde bulwadde bwa njoka]

[Omulwadde addako]

 

Verse III:

Next ye kadugala, ne bw’omukuuta tasobola kutukula

Wayelukilira eludda, n’omyukilira ng’elyanda

Olwamala ba presenter, otandise okukwebela

In fact, bakuteke mu zoo tutandike okulambula

N’embuzi ezikutudde, otandike ozikwabula

N’ebisagazi byazo otandike obiswankula

Anti osomesa, genda osomese enkula

Ebya Zuena biveko, okugyako ng’okyusa entunula

[N’ono afudde] [Buno butujju bwenyini]

[Enzikiza eyase, etaala n’ezikila] [Eno calamity]

 

Verse IV:

Kati ono my property, my yoghurt

My chapati, oli bogus! [Mxxm]

Hiphop tolinamu property

In fact, lyrics zo tezilina format

Mafia tayambala bupaale bwa ba ddemu

Ffe ba ddemu tuyombye bugyemu

N’emmotoka emyufu z’abakyala, baamu

Copy and paste abaana ba’kugwamu

Tulinze evidence ekintu okivemu

Eno podium yetaga game

N’aba flow emu ekintu ba’kivuddemu

Ba’kubye ekidandali okukakana nga baweddemu [Nga baweddemu]

 

Verse V:

Tubadde tukyali awo

Obudde bwamwe ne bunzigwako

Kangende nekolere ebinanzimba

Enkya bizimbe n’egwanga, Brii

[Haha] Akatalekeka, [Hehe] akatalekeka

Kati you go like me now [Recho Rey]

Eno mbakubye ndodo [Nkabakubye]

[Hehe] Mbu Who is Who?

Muntegedde, Who is a She? [Bad girl fly]

You go like me now [Recho Rey]

Eno mbakubye ndoddo [Yeah]

[Hehe] Mbu Who is Who? [Recho]

Muntegedde Who is a She? [Bad girl fly]

 

More Recho Rey Lyrics: Guma Bakunyige – Recho Rey Lyrics

Lawrence

Lawrence writes about music, tech, lifestyle, movies and entertainment. He writes for Spur Magazine and Newslibre when he is not busy shooting film, branding musicians or developing their digital and online marketing strategies.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *